1 Corinthians 15:54-57

54 aOmubiri guno oguvunda bwe gulifuuka ogutavunda, ogufa ne gufuuka ogutafa, olwo Ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti, “Okufa kuwanguddwa.”

55 b“Ggwe kufa, obuwanguzi bwo buluwa?
Ggwe kufa, amaanyi go agalumya galuwa?”
56 cObuyinza obulumya buva mu kibi, n’amaanyi g’ekibi gava mu mateeka. 57 dKyokka Katonda yeebazibwe atuwanguza ffe ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo.

Copyright information for LugEEEE